Mufti Mubajje asiibuludde abasiraamu mu maka ge
Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje ategeezezza nga bwebagenda okutenndeka abavubuka ku byalo eby’enjawulo kungeri gyebalina okwejja mubwavu nga bakozesa ensimbi gavumenti zebabawadde mu kwekulakulanya. Mubajje agamba govt nga eyita mu nkola ez’enjawulo nga PDM N’emyooga ebadde efuddeyo okugabira abavubuka ssente zokwekulakualanya naye nebatasobola kuziganyulwamu. Bino abyogedde bwabadde asiibulula abasiraamu ku mukolo ogwetabiddwako ne ambasada w’eggwanga lya america William Popp intro.