Fayilo eziri mu kkooti y’amagye:Ssaabawaabi asiddwa ku nninga okuziggyayo
Ababaka ku kakiiko ka palamenti ak’ebyamateeka bagala offiisi ya Ssaabawaabi wa gavumenti ereete ekiwandiiko mu palamenti nga kirimu fayiro mekka ze yaakafuna okuva mu kkooti y’amagye okuva kkooti ensukkuluma lweyasala nti kikyamu bano okuwuliriza emisango egirimu abantu baabulijjo. Ababaka era baagala okumanya emisango gino wegituuse, emeka egitwaliddwa mu kkooti, n’ebijikwatako ebirala. Abakulu okuva mu woofisi ya Ssaabawaabi wa gavumenti babadde balabiseeko mu kakiiko kano ku by’embalirira yabwe ey'omwaka gw'ebyensimbi ogujja