Okulwanyisa endwadde: Malaria yeegasse ku ndwadde ezirina okugemebwa entakera
Uganda kati ewezezza endwadde 14 zeegemesa entakera, oluvannyuma lw'okutongoza okugema omusujja gw’ensiri nga mu ntekateeka eno esooka abaana akakadde kamu mu emitwalo kkumi beebagenda okusooka okugemwa.Tukitegedde nti okugema kuno kwakusookera mu baana abali wansi w’e myaka ebiri mu disitulikiti 100 eza Uganda eziri obubi.