Munnamateeka Eron Kiiza akkirizziddwa okweyimirirwa
Kyaddaaki kkooti enkulu mu Kampala ekkirizza munnamateeka Eron Kiiza okuwoza ng’ava bweru, ng’ono kkooti y’amaggye yamukaliga ku kibonerezo kya myezi mwenda lwa kuyisa mu ssentebe waayo lugaayu.Omulamuzi wa kkooti eno Micheal Elubu mu nsalaye agambye nti ekibonerezo ekituufu kyandibadde kya nnaku asatu, kyoka kkooti y’amaggye yeewa obuyinza obuyitiridde n’emusiba emyezi mwenda ekitaali kituufu.Kyoka wakusigala nga awoza omusango mwasabira ekibonerezo kyonna kimugyibweko.