ZUNGULU: Biibino ebisesa ebibadde mu wiiki
Ensi kati eyongedde okutaama kubanga abantu tebakyawuliriza batuuze nga balina ensonga zaabwe. Buli omu ekimuluma kati ayagala akyekolereko nga ne bwe kiba kyetaagisa kufunya ku bikonde, akikola. Ogenda na kulaba eyali ssenkulu wa KCCA bw'attunka ne loodi meeya ku nsonga y'okumutiisatiisa okumukubira mu TV.