Gav’t etaddewo akakiiko okuyamba ku kwanguya emirimu gy'ekitongole ky'amasanyalaze ki UEDCL
Wagunjiddwawo akakiiko ak'enjawulo nga katuulako ateekerateekera eggwanika ly'e ggwanga, kko n'owa minisitule y'amasanyalaze ne by'obugagga eby'ensibo, nga omulimu gwabwe kukola nkyukakyuka ezinaasobozesa ebitongole nga UEDCL eky'amasanyalaze, kko ne UNOC ekikola ku by'okutuusa amafuta mu ggwanga okugula bye baagala nga mpaawo kukaluubirizibwa kwe bafunye. Irene Bateebe ateekerateekera minisitule y'amasanyalaze n'eby'obugagga eby'ensibo atugambye nti kino kigenda kubayamba okwanguyirwa okutereeza ebitongole bino ebitaneetengerera bulungi Sudhir Byaruhanga ayogeddeko ne Bateebe