Enguudo ezitaggwa: Gavumenti egamba yakusazaamu kontulakiti
Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja atabukide ba kontulakita abaawebwa omulimu gw’okukola oluguudo olw’e Salaama nga abalanga kukola kasoobo. Kinajjukirwa nti oluguudo luno lwalina kuggwa mu biseera by’olukungaana lwa NAM olwaliwo omwaka oguwedde, kyoka negyebuli eno teruggwanga. Nabbanja alabude nga kontulakiti yabano bweyinza okusazibwaamu singa, tebayanguye kumaliririza mulimu guno Bino abyogedde bwabadde alambula enguudo ezikolebwa mu kampala nga ali wamu ne minisita wa kampala Minsa kabanda, n’akulira KCCA omugya Sharifa Buzeki.