OKUBONEREZA ABAANA: Waliwo abavumiridde ebibonerezo ebikakali
Abalwanirizi b’eddembe ly’abaana kwossa nabakugu mu Mbeera z’abantu balaze obwennyamivu eri ab’amasomero n’abazadde abakyawa abaana ebibonirezo ebikakali mungeri yo kubabonerezanga basobeza. Bano bagamba enkuza eno tekoma kwonoona bwongo bwa mwana wabula ekosa nebiseerabye ebyo mu maaso. Baliko amagezi ge bawadde ku ngeri y'okubonereza abaana nga tebabawadde bibonerezo bikakali. Webijjidde nga alipoota ye kitongole ki Uwezo eyafulumiziddwa gyebuvuddeko eraga nti amasomero 70 ku kikumi bakyawa abaana ebibonerezo ebikakali so nga n'amaka 85 ku 100 gakyakola kyekimu.