ENKAAYANA KU TTAKA:Agobebwa ab’oluganda alaajanye
E Mityana waliwo omukadde ow’emyaka enkaaga ate nga omuzibe eyeekubidde enduulu eri ab’obuyinza , ng'ayagala bamuyambe bakome ku mukulu we gw’agamba nti amusuza ku tebuukye, olw’okusaawanga emmere ye n’okumuvuma entakera. Rosemary Namukwaya nga mutuuze w’e Zigoti mu disitulikiti y’asula ku tebuukye ng’agamba kati ali mu kutya olw’obutamanya bigendererwa bya mukuluwe. Yye mukuluwe gwalumiriza, ebyokumutulugunya abyegaanye.