Enkaayana mu baavuganya mu kamyufu ka NRM, okuwulira okwemulugunya kukoma ku bbalaza
Akakiiko akatekebwawo omukulembezze w’e ggwanga okugonjoola enkaayana ezaava mu kamyufu k’ekikiina ki NRM kakukomekereza emirimu gy’okuwulira emisango gyino ku balaza ya wiiki ejja. Kyoka mu ngeri y’emu tukitegedde nti akakiiko kano kaakafuna emisango 178 okuva mu kamyufu ka gavumenti ez’ebitundu okaaliwo nga 24 omwezi guno okwetolola eggwanga.