ENKALU MU KUYIMBULA DR. BESIGYE : Ssaabawolereza tanawabula kitongole ky'amakomera
Bugenze okuwungeera ng’ababadde basuubirwa okulaba Dr. Kiiza Besigye ne munne Obed Lutale saako n’abasibe abalala abaasibibwa ku biragiro bya kkooti y’amagye ng'essuubi ligenze likeewa oluvannyuma lw’ekitongole ky’amakomera bano obutabayimbula.
Okusinziira ku Erias Lukwago omu ku bannamateeka ba Dr. Kiiza Besigye bwebasisinkanya akulira ekitongole ky’amakomera Johnson Byabashaija abategeezeza nti balinze kuwaburwa okuva ewa ssaabawaabi wa gavumenti ku kyebalina okuzzaako oluvannyuma lw’ensala ya kkooti ensukkulumu ku basibe bebakkumidde ku biragiro bya kkooti y’amagye.