Enkuba e Bukomansimbi esudde essomero n’amayumba g’abatuuze
Abayizi n’abasomesa ku ssomero li Kabandiko Primary School mu gombolola ye Kitanda mu district ye Bukomansimbi bali mu bwerariikirivu oluvanyuma lwa namutikwa we nkuba eyatonye olunaku olwajjo okusuula ekizimbe ne kirumya omuyizi. Enkuba eno yakosezza ebyalo okuli Baakijjulira, Misenyi, Kabandiko, Mugaaju,Gayaza ne Kyankobe nga byonna biri mu Gombolola ye Kitanda e Bukomansimbi.