Enkuba e Kasese eresse esudde ebizimbe by’essomero
Enkuba erimu n’omuyaga ogwamanyi egoyezza essomero lya Kinyamaseke primary erisangibwa mu district ye Kasese okukakana nga ebibiina bitikuddwako obusolya. Ebizimbe ebikoseddwa bagamba bibadde bikadde nnyo nga ate biri mumbeera mbi. Abakulira ebyenjigiriza mu kitundu kino bagamba ssente ezaaweebwa okuddaabiriza ebizimbe mumbalirira yomwaka guno tezimala bulungi kukola ku masomero gonna, nabwekityo bawanjaganidde government okubongeza ku ssente.