Ensigo empya zitongozeddwa, kuliko ez’obulo, obummonde n’amatooke
Waliwo ensigo z'ebirime empya gavumenti z'etongozza abalimi batandise okuzisiga bongere ku bungi bw'abyo, n'akasente mu nsawo kabeyongere. Ensigo zino kuliko ez'obulo, obummonde n'amatooke wabula tukitegedde ensigo z'obulo China yeyayambyeko okuzireeta nga za kika kya njawulo nga zikoleddwa mu ngeri nti kizibu okukwatibwa obulwadde ate nga zigumira embeera enkakali. Wabula abakugu mu by'obulimi baagala ebikwata ku nsigo zino, bituuke mangu ku balimi bazitegeere, zigende okubatuukako nga bamanyi eky'okuzikozesa.