Enteekateeka z'emisinde gya Kabaka ziwedde, abantu emitwalo 12 be basuubirwa
Entekateeka z’emisinde gy’okukuza amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka ensanvu webuzibidde nga ziggyiddwako engalo. Okusinziira ku lukiiko oluteesiteesi, abantu abali eyo mu mitwaalo 12 bebasuubirwa okugyeetabamu, era ng’a nnyinimu, ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II yasuubirwa okusimbula emisinde gino. Emisinde gy’omulundi guno giri w’omulamwa ‘ogw’abasajja okuba abasaale mu kulwanyisa akawuka ka mukenenya era nga Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akunze abalina ettutumu okwenyigira mu kaweefube w’okulwanyisa mukenenya.