Entiisa e Kazinga; Waliwo abaziikudde ebisigalira by’abafu ne babireka kungulu
Abatuuze ku kyalo Kazinga mu Kyengera Town Council bakeeredde mu ntiisa, abantu nakati abatanategeerekeka bwe baziikudde ebisigalira by’abagenzi 17 ne babireka ku ngulu. Ab’oluganda balumiriza nti waliwo bannaabwe abaatunda ettaka lino, kale nga bebaaguza bayinza okuba nga bebaakoze kino okwagala okwezza ettaka lino. Poliisi ebakanye n’okunonyereza ku nsonga zino.