Entujjo ebadde ku matikkira ga Kabaka, waliwo abagaaniddwa okutuuka ku muzigiti e Kibuli
Abantu okuva e bule ne byeeya beeyiye ku kasozi Kibuli okujjaguza amatikkira ga Kabaka aga 32 agakuziddwa olwaleero. Newankubadde abasinga bazze beetegekedde obukulu bw'ekifo kino, waliwo abatakkiriziddwa kuyingira nga entabwe avudde ku kya kujja nga bekeseredde omulangira Namaalwa.