Essaawa za Paapa envannyuma, yawadde abakristu omukisa ku missa ya Paasika e Vatican
Nga tannassa gwa nkomerero, Paapa Francis olunaku lw’eggulo yalabiseeko mu kibangirizi ky’omutukirivu Petero oba St. Peter’s Square e Vatican mu Roma okuwa abakristu omukisa nga missa ya Pasika yakwaggwa. Kyabadde kyakyewuunyo abantu okumukubako ebirozo olw’embeera y’obulamu bwe era ekitambiro kya missa kyeyabadde alina okukulembera y’akiwadde Kalidinaali Angelo Comastri okukiyimba.K'atubirabe.