Okufa kwa Paapa; bannayuganda bakungubagidde omutukuvu Paapa Francis
Omutukuvu paapa Francis waakulwawo ng’ajjukirwa olw’obukulembeze bwe obubadde bujjudde okwewaayo, okuyaayanira obwenkanya saako okubunyisa enjiri ey’okussa ekitiibwa mu kukuuma emirembe.Bino bizze byeyolekera ku mbeera ez’enjawulo z’azze alabikira mu lujjudde nga bwebuufu bw’ebigere by’azze atambuliramu.