Essomero eryaseresebwa essanja e Masaka lifunye ebizimbe ebipya
Abayizi b'essomero lya Lyakibiriizi Cope Primary School erisangibwa mu gombolola ye Kyazanga mu district ye Lwengo bali mu kubinuka masejjere oluvannyuma lw'okufuna ebizimbe ebipya. Essomero lyetwogerako lyali lyaseresebwa ssanja era ng’embeera abayizi mwe baali basomera nga teyeeyagaza kubanga n’ebibiina baali babigabana.