ESSOMERO LYA KITEBI SS: KCCA enoonyereza ku bizimbe ebiri obubi
Obulamu bw’abayizi buli mu katyabaga mu ssomero lya Kitebi Secondary School - essomero lya gavumenti erisangibwa mu division y’e Makindye oluvannyuma lw’akakiiko k’eggwanga akavunaanyizibwa ku by’okuzimba aka National Building Review Board okusanga ebizimbe bibiri omusomerwa abayizi nga engalama zaabyo zijjudde enjatika era nga ziwaniriddwa miti gya kalittunsi. Newankubadde ab’akakakiiko baalabula abaddukanya essomero lino baleme kuddamu kutuuza bayizi mu bibiina bino mu mwezi Ogwokubiri, abayizi n’okutuusa kati bakyabisomeramu. N’aba KCCA abaategeezebwako mu butongole okulondoola ensonga eno, nabo tebannakola gwabwe.