ETTAKA LYE BUYALA, KCCA eyimirizza okuyiwayo kasasiro, yakusooka kukola makubo
Ekitongole ki KCCA kiyimirizza okuyiwa kasasiro ku ttaka lye Buyala mu gombolola y’e Muduuma okutuusa nga kimaze okukola amakubo, kko n’okusima emyala omunaayitanga amazzi agava mu kasasiro. Kino kiddiridde abakulembeze b’e Mpigi okugasimbagana ne KCCA ne babakunya ku kyokubayiira kasasiro mu kitundu kyabwe mu ngeri eteeka obulabe bw’abatuuze mu katyabaga. Kati bano bakkaanyizza okusooka okuteekateeka ekifo kino obulungi nga bwebakola ku nsonga endala omuli okulambulula obwananyini bwebalina ku ttaka lino.