Ettaka okutudde ekitebe kya disitulikiti ye Mubende kizuuse nti lya Buganda
Onojjukira nti wabaddewo enkaayana ku ttaka okutudde ekitebe kya Disitulikiti ye Mubende ku ani nnyini waalyo omutuufu wakati wa Disitulikiti n’obwakabaka bwa Buganda. Ettaka lino era kwekutudde embuga ye Ssaza lye Buweekul. Kati akakiiko ka disitulikiti eno akavunaanyizibwa ku by’ettaka n’ebyobugagga obwensibo kakizuddde nti ddala ettaka lino lya Buganda oluvannyuma lw’okukola okunoonyereza kwayo. Kyokka alipoota y’akakiiko kano yagobeddwa sipiika w’olukiiko lwa disitulikiti eno mu lutuula olwabaddemu okukubagana empawa ku nsonga eno.