Eyakaligiddwa emiguwa e Kakiri; aba famire ye bagamba by’ekuusa ku nkaayana ku ttaka
Waliwo kaweefube atandikiddwako okusobola okuzzaawo ekibira ekiyitibwa Nonve ekisangibwa e Kakiri mu disitukikiti y’e Wakiso.Kaweefube ono alimu okuddamu okusimba emiti mu kibira kino era ng'olunaku lw'eggulo, Omuwabuzi wa president ku nsonga z’obutonde bw’ensi Gilbert Bukenya na b'ekitongole ekivunanyizibwa ku bibira mu ggwanga kki NFA wamu nabatuuze basimbye emiti egyisoba mu 500.Ekibira kino kumpi kyonna kibadde kisaanyewo.