Eyakwatibwa e Fort Portal olwokwonona entobazi atanziddwa, alagiddwa okugirongoosa
Kyaddaaki Omusubuzi Abas Balinda eyakwatibwa ku ntandikwa ya wiiki eno olwokwonona entobazi z’omugga Mpanga mu kibuga Fort Portal, atandise okuggyawo ettaka lye yali ayiye mu lutobazzi ekyali kiviriiddeko n'amazzi okutandika okwanjaala mu kitundu. Ab'ekitongole ki NEMA bagamba nti ono yakkirizza ensobi ze bwe batyo ne bamusalira engassi ya bukadde obusukka mu kikumi.