Eyatta omuntu okumpi ne Sheraton nakati akyabuze
Ab’eng’anda z’omusajja Julius Ssekamwa eyatibwa omuserikale wa poliisi Charles Bahati ku nkulungo y’oluguudo lya Ssezibwa okuliraana wooteri ya Sheraton mu Kampala nga 23 December omwaka guwedde bagamba nti ensonga bazitwala mu kkooti bafune obw’enkanya. Bano bagamba nti bukyanga muntu wabwe attibwa , poliisi ezze ebasuubiza okukwata omuserikale eyamutta , kyoka nakaakano mpaawo mawulire ga ssanyu gebaali bafunye. Poliisi etubuulidde nti bingi ku biwandiiko omuserikale ono byeyakozesa nga ayingira poliisi byali bya kujingirira - kale nga sikyangu kya kumuzuula.