Eyatundanga ffene okweweerera yatikiddwa e Kyambogo
Ssabiiti eno ettendekero li Kyambogo University lyabadde n'amattikira gaalyo ag'omulundi ogwa 20 ,abayizI abasoba mu 10,000 be baatikkiddwa mu masomo ag'enjawulo. Ku bangi abaatikiddwa kwekwabadde n'omuwala Edith Gimbo ng'ono okusoma abadde akeera kutunda ffena ku kkubo era nga muno mwajje ensimbi okweweerera. Baker Ssenyonga Mulinde awayizaamu naye ku by'ayiseemu ng'asoma.