Faridah Nambi atutte Elias Nalukoola mu mbuga z’amateeka nga amuvunaana kwetaba mu kubba kalulu
Eyavuganya ku kifo ky’omubaka wa Kawempe North ku kaada ya NRM Faridah Nambi Kigongo atutte munne eyawangula munna NUP Elias Nalukoola mu mbuga z’amateeka nga amuvunaana kwetaba mu kubba kalulu mu kulonda kuno. Mu musango guno Nambi awawaabidde nakakiiko ke byokulonda nga akalanga obutabala kulonda okuva mu bifo 14 omulonderwa nga muno mwalimu obalonzi 16,640. Kati bano basaba okulonda kwonna kuddibwemu