Gavumenti eddukidde mu Ba-China okuliira abakaramoja
Ensonga y'okumalawo enjala mu bitundu by'e Karamoja erabika ng'ekyakaalubiridde gavumenti kubanga ne ku mulundi guno ebadde erina kutuukirira gavumenti ya China okugiwerezaayo ku muceere etaase Abakaramoja.Emmere eno olwaleero ekwasiddwa wofiisi ya ssaabaminisita ng'ebalirirwamu obuwumbi bw'ezakuino 7 mu obukadde bisatu.Kyokka tukitegedde nti ne gavumenti tetudde ku ky'okufuna engeri gy'emalawo enjala e Karamoja.