Gavumenti eyongedde 'musigansimbi’ Pinetti obuwuumbi 465
Gavumenti ekoze enongoserezza mu mbalirira gy’esuubira okwanjulira palamenti olunaku olw’enkya ng’eno erinye okuva mu buse oba trilions 66 okutuuka ku buse oba trillions 71 n’ensimbi ezigwamu.Mu mbalirira eno bataddemu obuwumbi 465 buno bwakuweebwayo eri omulimu gw’okuzimba eddwaliro lye Lubowa , nga omulimu guno kati gugenda kuba gwakatekebwako ensimbi trilion emu n’obuwumbi asatu mu mwenda.