Gavumenti yakuggulawo ameekalirizo okutaasa obugimu bw’ettaka
Kizuliddwa nti ettaka mu Uganda lyeyongera okwononeka buli lukya ekiviiriddeko amakungula ga buli Kirime okukendeera nga kino kyesigamiziddwa ku nnima embi. Mumbeera eno gavumenti ebakanye ne kaweefube ow'okuzimba amakeberero ag'enjawulo agagenda okukozesebwa mu kulondoola n'okukebera omutindo gw'ettaka okuyambako abalimi abayita mukusoomozebwa olw'ettaka erikaddiye.