Abaakoseddwa omuyaga e Kalangala badduukiriddwa n’ebyetaago ebikulu mu bulamu
Ekitongole ki Redcross kko ne wofiisi ya ssabaminisita badukiridde abatuuze wamu n'abaserikale be Kalangala abakosebwa omuyaga ogumanyiddwa nga ensoke sabiiti ewedde okukakana ng'abantu banna bafudde n'ennyumba eziwerako ne zisaanawo.Abatuuze abaakosebwa abasoba mu 250 bawereddwa obuyambi okuli weeme, amatundubaali , eby'okwebikka ,obutimba bw'ensiri kko n'ebirara.