‘Lwaki temuva mu buyinza?’Katikkiro ayambalidde abakulembeze abatavaako
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ayagala abakulembeze ku mitendera gyonna bemanyiize enkola y’okuwumula ng’akaseera akatuufu katuuse,sosi kulinda kusindiikirizibwa. Katikkiro agambye nti okuwummula si kabonero ka bunafu oba okubulwa obusobozi obulengera ewala, wabula kiraga nti waliwo n’abalala abalina ekitone ky’okuweereza. Bino abyogedde bwabadde asisinkanye Omulabirizi w’obulabirizi bwa Central Buganda Henry Katumba Tamale agenda okuwummula ku nkomerero y’omwezi guno.