Enkuba e Namisindwa esanyizzaawo amayumba agasoba mu 100
Enkuba eyamaanyi omubadde embuyaga n’omuzira etonye ku byalo mukaaga mu disitulikiti ye Namisindwa, okukakana nga ennyumba ezisoba mu 100 tezisigadde waggulu. Enkuba eno yatonye kawungeezi ka lunaku olw’eggulo okumala esaawa ezisoba mu ssatu , yagenze okukya nga tawuni kanso ye Lwakhakha kyenkana eweddewo.