Okulwanyisa Obujama:wiiki y’okweyonja etongozeddwa
Kizuuse nga uganda efiirwa obuse oba trilions nnya buli mwaka nga zino zigenda mu butyabaga obujja olw’obujama obukosa eggwanga lyonna. Bino tubitegeeredde ku mukolo minisitule ye by’obulamu kw’etongolezza e sabiiti y’okweyonja ekuzibwa buli mwaka nga olwaleero babade mu katanga wano mu kampala. kaweefube ono agendereddemu okulaba nga abantu beegobako obuligo okuviira ddala mu maka gyebasula.