Entalo z’obusiramu bw’eziti bwe zizze zikula
Entalo mu bukulembeze bw'obusiramu obwa Uganda Muslim Supreme Council ziringa ezituuse ku ssa omutandisi w'ekibiina kino omukulu ze yali agezaako okwewala mu myaka gy'akyo egy'asooka. Eyali omukulembeze wa Uganda wakati wa 1971 ne 1979 Idd Amin Dada yalaba entalo mu ddiini gy'akkirirzaamu mpitirivu kwe kusala amagezi gano okugatta abasiramu bonna. Kyokka emyaka bwe gizze gyetoloola, UMSC ezze etaggulukuka olw'abangi kye babayita omululu gw'obuyinza. Olwaleero katukuzzeeyo ko emabaga twetegereze engeri ekibiina kino gye kyatandikamu na butya bwe kizze kisansulukuka.