Omubbi w’emmwanyi apookya, abamukute bamutemyeko emikono gyombi
Abatuuze ku kyalo kalaggala ekisangibwa mu gombolola ye Kassanda mu disitulikiti ye Kassanda bakakkanye ku musajja gwe baateberezza okubeera omubbi w’emmwaanyi ne bamutemako ebibatu eby’emikono gyombi.Bosco Senkima yakoleddwako obulabe nga kigambibwa nti ono yakwaatiddwa lubona nga ali mukunoga mwaanyi mu nnimiro y’omu ku batuuze kwekumukakanako ne bamutemako engalo. Omwogezi wa poliisi mubitundu ebye Wamala Rachel Kawala bino abikakasizza era n’ategeeza nga omuyiggo bwegutandise okunyweeza abenyigidde mukikolwa kino.