Eyewola n’alwala omutwe beeyewolako yadda batunze amakaage
Ku kyalo Nakasagga mu tawuni kanso ye Kasambye mu disitulikiti ye Mubende waliwo omusajja alumiriza kampuni ya Brac okutundu enjuuye oluvanyuma lw’okulwala omutwe nalemwa okusasula ensimbi obukadde obubiri zebaamuwola mu mwaka 2019. Omusajja ono Isa Bali Lubanga atubuulidde nti amangu ddala nga kyajje yeewole ensimbi zino mu 2019 yatabuka omutwe natwalibwa e waabwe e busoga yagenze.