Okufumbiza Abatanetuuka:Abatwa be beetwalira abaana mu basajja
Abasomesa mu disitulikiti okuli eya Kisoro ne Kanungu beekubidde enduulu eri gavumenti okulaba ng'ebayambako okulwanyisa emize gy'okufumbiza abaana abatenetuuka mu bitundu bino na ddala abava mu ggwnaga lya Batwa. Okusinzira ku basomesa, abazadde begumbulidde omuze gw'okutwala abaana baabwe mu mabaala mu ngeri y'okusendaasenda abasajja okuboogereza.