Janet Museveni aweze amasomero okutimba ebivudde mu bigezo
Minisita W’e by’enjigiriza Janet Kataaha Museveni ayagala amasomero gakomye okutimba kko n’okulalaasa ebivudde mu bigezo by’abayizi ku mitimbagano n’ebifo eby’okukale , kubanga kino kibakosa mu bwongo, kko n’okumalamu banaabwe abakoze obubi amaanyi. Ono ayagala amasomero gatandike okukozesa engeri endala eyokumanyisaamu abaana n’abazadde ebivudde mu bibuuzo byabwe , naye nga babalekeramu aka twekisize.Okwogera bino abadde atongoza ebyavudde mu bibuuzo byabayizi aba siniya eyokuna,omujiji ogusoose wansi w’ensoma empya ensiziira ku busobozi n’obwetengereze bw’omuyizi.