Kaziimba Mugalu avumiridde obusosoze mu NEMA
Ssaabalabirizi wa kkanisa ya Uganda,Dr Stephen Kazimba Mugalu avumiridde eky'okugobaganya abanaku mu ntobozza ate abagagga ne balekebwa okwegazaanya. Kazimba agamba nti eneeyisa nga eno eviiriddeko obutonde bw'ensi okusaanawo, naddala okweyongera kwokusanyaawo kwe ntobazzi n'ebibira. Bino kazimba abyogede atongoza omwezi gw'okulwanirira obutonde bwensi mu kanisa ya Uganda .