Kkooti etandise okuwulira omusango ku nkaayana ku ttaka ly’olugave
Olwaleero Kkooti enkulu e Mpigi etandise okuwulira omusango Gwettaka ogwatekebwaayo Prof Charles Sssekyewa mu 2022 nga alumiriza abatuuze mu ggombolola ye kiringente mu district y'e Mpigi okusaalimbira ku ttaka Lyagamba nti lirye.Obuzibu webuvudde ku ttaka lino, be batuuze abaliwangaliirako okukalambira nti bbo bamanyi ba kika kya Lugave nga bannanyini ttaka kyokka nga ye Ssekyewa agamba yaligula kw'eyali mukyala w'akulira ekika kino.Oludda oluwaabi terurabiseeko kyokka nga kkooti eyagala babeeko bye bagatta mu mpaaba yaabwe olwo omulamuzi alambule ettaka eryogerwako nga tannawa nsala ye.