Kyaddaaki Luyimbazi Nalukoola alayidde
Oluvanyuma lw'okukuba ebirayiro mu butongole olunaku olwaleero, Omubaka wa Kawempe North omuggya, Elias Luyimbazi Nalukoola ayagala palamenti emuweeyo akadde akawerako asobole okwanja ebizibu by'abantu be b'agamba nti bamaze ebbanga nga tebaliiko akiikirira.Nalukoola olwaleero alayidde okuweereza banna Kawempe North mu bwesimbu mu maaso ga sipiika wa palamenti Anita Among wabula nga talayiridde mu lutuula lwa palaemti nga bw'etera okuba enkola.Bannakibiina ki NUP babaddewo mu bungi okumwaniiriza.