LWAKI MUKOLA BULUNGIBWANSI? Poliisi eyodde ba kansala b’e Lubaga
Poliisi mu bitundu by'e Nateete egobaganye ne ba kansala b'eggombolola y'e Lubaga abakedde okukola bulungi-bwansi mu zooni y'e Nateete.Bano babadde bakulembeddwamu Faridah Nakabugo ng'era ekibadde kibaleese kwekugogola emyaka mu kitundu kino gyebagamba nti kiviirako okwanjaala kw'amazzi olwo nekikoza abantu bebakiikirira.Poliisi bano ebategeezezza nti mpaawo gwebaasabye lukusa kukola mulimu guno.