Abaasengulwa amataba e Ntoroko bamaze emyaka etaano mu kubundabunda
Abantu abasoba mu 9000 abaakosebwa amataba mu disitulikiti ye Ntoroko mu mwaka 2019 oluvanuuma lwe nyanja muttanzige okubooga baagala gavumenti ebafunira we bayinza okusengukira, oluvanyuma lw’okukitegeera nti amazzi agaabazinda gakyagaanye okukendeera. Amazzi gano gaakosa eggombolola namba ey’e Kanara , ng’okuva olwo abantu abaali mu kitundu kino bonna basula mu nkambi era nga bavujjirirwa bazira kisa.kati basaba bafunirwe ettaka webayinza okusengukirwa, ebyokulinda amazzi okugenda babiveeko.