Abeeyita ab’akabinja ka Al-queda basse munaabwe
Abatuuze mu zooni ya Nakibinge e Kibuli baagala Poliisi ebataase ku bavubuka abeeyita abakabinja ka ALQUIDA be bagamba nti babasuze tebeebase.Kino kiddiridde abavubuka abateberezebwa okuba abakabinja kano okutta omuvubuka Hajale Muhammad mu kiro ekikeeseza olwaleero.Kigambibwa nti akakundi kano kakolera wansi w'entekateeka eya Ghetto Structures SACCO ekyatongozebwa omukulembeze we ggwanga nga ekigendererwa kya kujja bavubuka mu bwavu nadda abali mu nzigotta.