Mao asabye bukadde okutendeka abakozi okukozesa kalimpitawa
Minisita w’eby’amateeka Norbert Mao, abuulidde ababaka ku kakiiko ka palamenti ak'ebyamateeka nti mu kulonda kwa 2026 , okulonda kwakukolebwa nu byuma bikali magezi, kiyambeko okumalawo ebikolwa by'okubba akalulu. Bino Mao abayogedde bwabadde alabiseko mu kakiiko k’eby’amateeka aka palamenti okubategeeza ku mbalirira ya ministule ye ey’omwaka gw’ebyensimbi 2025/2026 nga eno ya buwumbi 201, kyoka nga buno tebugenda kubamala. Kyokka ababaka bambalidde abakulu mu minisitule eno olw'okuteeka ssente eziri eyo mu bukadde okusomesa abakozi baayo kukonzesa y’obupiira bu kalimpitta wa.