Mmisa y’okujjukira omulamazi eyafiira mu Mabira eyongedde okwettanirwa
Abalamazi okuva mu Kenya olwaleero bakungaanidde mu kibira kya Mabira okwetaba mu mmisa y’okujjukira mulamazi munaabwe John Kibe eyafiira mu kifo kino kwossa abalamazi abalala abazze bafiira mu ngendo z'okulamaga. Bwanamukulu w’ekigo kya St Kaloli Lwanga Mbikko atageezezza nti omuwendo gw’abalamazi abeetanira mmisa eno gugenda gulinnya, era bwatyo n’asaba abakkiriza okutandika okubakwatizaako mu nteekateeka eno.