Mubende y’ekirira okusobya ku baana abato mu Uganda yonna
Okusinziira ku alipoota y’obuzzi bw’emisango ey’omwaka 2024 eyafulumizibwa omwaka guno 2025, emisango egyekuusa ku kubasassanya abaana gyeefuga nnyo disitulikiti okuli Mubende, Mukono , Luwero, ne Kampala. Abakulu mu disitulikiti ye Mubende bagamba nti kino kivudde nnyo ku mawanga g’abantu amangi agali mu disitulikiti eno, okukozesa ebiragalalagala mu bavubuka kko n’obutafaayo bw’abakwasisa amateeka. Kyokka baliko amateeka gebatandise okubaga , kitaase abaana ab’obuwala okutuusibwako obulabe.