Mukaaga bafu, 21 bafunye ebisago mu kabenje akaaguddewo e Kagoma
Poliisi ekakasizza abantu 6 nti bebafiiridde mu kabenje ddekabusa akaaguddewo mu kiro ekikeseezza olwaleero e Kagoma ku luguudo olugenda e Bombo.Lukulalana eyabadde tesiba yalemeredde omugoba waayo okukakkana nga esabaadde mmotoka mwenda omwabadde ne Taxi ezaabaddemu abasaabaze.Abantu 21 nabo bakyapooca na biwundu. Abawangaalira eno bagamba nti oluguudo luno lwetaaga okugaziya okumalawo ebizibu nga bino.